• 1 Mukama afuga; ensi esanyuke: Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi.
    2 Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe ye.
    3 Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n’eruuyi.
    4 Enjota ze zaamulisa ensi: Ensi n'eraba n'ekankana.
    5 Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna.
    6 Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye.
    7 Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.
    8 Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, ai Mukama.
    9 Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna.
    10 Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi.
    11 Omusana gwasigirwa omutuukirivu, N'essanyu oyo alina omutima ogw'amazima.
    12 Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.