• 1 Owulire okukaaba kwange, ai Katonda; Olowooze okusaba kwange.
    2 Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga; omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.
    3 Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe.
    4 Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera)
    5 Kubanga ggwe, ai Katonda, owulidde obweyamo bwange: Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo.
    6 Olyongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka: Emyaka gye giriba ng'emirembe emingi.
    7 Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna: Kale teekateeka ekisa n'amazima, biryoke bimuwonye.
    8 Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna; Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange.