• 1 Mumutendereze Mukama. Mumutendereze Katonda mu watukuvu we: Mumutendereze mu bbanga ery'amaanyi ge.
    2 Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi: Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli.
    3 Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere: Mumutendereze n'amadinda n'ennanga.
    4 Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina: Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere:
    5 Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo: Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono.
    6 Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama.