• 1 Onsalire omusango, ai Katonda, era ompolereze ensonga eri eggwanga eritatya Katonda: Ondokole eri omuntu ow'obulimba atali mutuukirivu.
    2 Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?
    3 Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye: Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.
    4 Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, ai Katonda, Katonda wange.
    5 Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange; era Katonda wange.