• 1 Ggwe, ai Mukama, naakukoowoolanga; Olwazi lwange, togaana kumpulira: Nneme okuba ng'abo abakka mu bunnya, Oba nga ononsiriikirira.
    2 Wulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange, bwe nkukaabirira, Bwe nnyimusa emikono gyange eri ekifo ekitukuvu ky'oyogereramu.
    3 Tompalulira wamu n'ababi, N'abo abakola obutali butuukirivu; Aboogera eby'emirembe ne bannaabwe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.
    4 Obawe ng'emirimu gyabwe bwe giri era ng'obubi obw'ebikolwa byabwe: Obawe ng'emikono gyabwe bwe gikola; Obasasule bye basaanidde.
    5 Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama, Newakubadde emikono gye bye gikola, Alibamenyaamenya so talibazimba.
    6 Atenderezebwe Mukama, Kubanga awulidde eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
    7 Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo; Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange.
    8 Mukama ge maanyi gaabwe, Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.
    9 Lokola abantu bo, owenga omukisa ab'obusika bwo: Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna.