• 1 Nayogera nti Neekuumanga amakubo gange, Nnemenga okwonoonya olulimi lwange: Naasibanga akamwa kange n'olukoba, Omubi ng'ali mu maaso gange.
    2 Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera.
    3 Omutima gwange ne gwaka munda yange; Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera: Ne ndyoka njogera n'olulimi lwange:
    4 Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ekigera eky'ennaku zange bwe kiri; Ntegeere bwe ndi omumenyefu.
    5 Laba, ennaku zange wazikola ng'enta; N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, bw'anywerera ddala, mukka bukka. (Seera)
    6 Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.
    7 Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi.
    8 Onziye mu byonoono byange byonna; Tonfuula kivume kya basirusiru.
    9 Nasiruwala, saayasamya kamwa kange; Kubanga wakikola.
    10 Onzigyeko omuggo gwo: Mmaliddwamu amaanyi olw'okukuba kw'omukono gwo.
    11 Bw'obuuliriranga omuntu n'okunenya olw'obutali butuukirivu, Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng'ennyenje: Mazima, buli muntu mukka. (Seera)
    12 Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange; Tosirikira maziga gange: Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali.
    13 Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo.