• 1 Mukama agamba mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.
    2 Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni: Ggwe fugira wakati mu balabe bo.
    3 Abantu bo beewaayo n'omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw'obuyinza bwo: Mu bulungi obw'obutukuvu, olina omusulo ogw'obuvubuka bwo, Oguva mu lubuto lw'enkya.
    4 Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
    5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo Alifumita bakabaka ku lunaku olw'obusungu bwe.
    6 Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo; Alifumita omutwe mu nsi ennyingi.
    7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo: Kyaliva ayimusa omutwe.