• 1 Isiraeri bwe yava mu Misiri, Ennyumba ya Yakobo mu bantu ab'olulimi olulala;
    2 Yuda n'abeera awatukuvu we, Isiraeri amatwale ge.
    3 Ennyanja n'eraba ekyo, n'edduka Yoludaani n'agobebwa okudda ennyuma.
    4 Ensozi ne zibuuka ng'endiga eza seddume, N'obusozi obutono ng'obuliga.
    5 Wali otya, ggwe ennyanja, okudduka? Naawe Yoludaani, okudda ennyuma?
    6 Mmwe ensozi, okubuuka ng'endiga eza seddume; Mmwe obusozi obutono, ng'obuliga?
    7 Kankana, ggwe ensi, awali Mukama, Awali Katonda wa Yakobo;
    8 Eyafuula ejjinja ekidiba eky'amazzi, Ery'embaalebaale oluzzi olw'amazzi.