• 1 Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda; Asala emisango mu bakatonda.
    2 Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi? (Seera)
    3 Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe: Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
    4 Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga: Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.
    5 Tebamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza: Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.
    6 Nayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.
    7 Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira.
    8 Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango: Kubanga olisikira amawanga gonna.