• 1 Mu buziba nkukaabidde ggwe, ai Mukama.
    2 Mukama, owulire eddoboozi lyange: Amatu go galowooze Eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
    3 Mukama, bw'onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?
    4 Naye waliwo okusonyiwa w'oli, Olyoke otiibwenga.
    5 Nnindirira Mukama, emmeeme yange erinda, Era ekigambo kye kye nsuubira.
    6 Emmeeme yange eyaayaanira Mukama, Okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya; Weewaawo, okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya.
    7 Ggwe Isiraeri, suubiranga Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okusaasira, Era awali ye we wali okununula okungi.
    8 Era oyo alinunula Isiraeri Mu butali butuukirivu bwe bwonna.