• 1 Okumpi n'emigga egy'e Babulooni, Twatuulawo wansi, weewaawo, ne tukaaba amaziga: Bwe twajjukira Sayuuni.
    2 Ku miti egyali wakati mu kyo Ne tuwaaikako ennanga zaffe.
    3 Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagirira eyo okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.
    4 Tunaayimbanga tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe?
    5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gwerabirenga amagezi gaagwo.
    6 Olulimi lwange lwegattenga n'ekibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange ekkulu.
    7 Ojjukire, ai Mukama, ku baana ba Edomu Olunaku olw'e Yerusaalemi; Abaayogera nti Kisuule, kisuule, Era n’emisingi gyakyo.
    8 Ggwe omuwala ow'e Babulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe.
    9 Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka ku jjinja.