• 1 Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye.
    2 Omusana gugamba ebigambo omusana, N'ekiro kiraga amagezi ekiro.
    3 Siwali bigambo newakubadde olulimi; Eddoboozi lyabyo teriwulikika.
    4 Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Abiteekeddemu enjuba eweema,
    5 Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye, Era esanyuka ng'ow'amaanyi okuyita mu lugendo lwayo.
    6 Evaayo ku nkomerero y'eggulu, Ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo: So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo.
    7 Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.
    8 Okuyigiriza kwa Mukama kwabutuukirivu, okusanyusa omutima: Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso.
    9 Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna: Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala:
    10 Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n'ezaabu ennyingi ennungi: Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.
    11 Era ebyo bye birabula omuddu wo: Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.
    12 Ani ayinza okukebera ebyonoono bye? Onnongoose mu bibi ebikisibwa.
    13 Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo; Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga.
    14 Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.