• 1 Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi:
    2 Abakopi era n'abakulu, Abagagga n'abaavu awamu.
    3 Akamwa kange kanaayogera amagezi; N'omutima gwange gunaalowooza eby'okumanya.
    4 Okutu kwange naakutegera olugero: Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga.
    5 Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange?
    6 Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi;
    7 Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe:
    8 (Kubanga ekinunulo eky'emmeeme yaabwe kizibu, Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:)
    9 Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Alemenga okulaba okuvunda,
    10 Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala:
    11 lowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna, Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.
    12 Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa: Ali ng'ensolo ezizikirira.
    13 Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe: Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera)
    14 Bateekerwawo magombe ng'ekisibo; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe: Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu.
    15 Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alinzikiriza. (Seera)
    16 Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera:
    17 Kubanga bw'alifa talitwala kintu: Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera:
    18 Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi,
    19 Alikka mu mirembe gya bajjajja be; Tebaliraba musana nate.
    20 Omuntu alina ekitiibwa n’atategeera, Ali ng'ensolo ezizikirira.