• 1 Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze: Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.
    2 Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: Kubanga abalwana nange n'amalala bangi.
    3 Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe.
    4 Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki?
    5 Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde: Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw'obubi.
    6 Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.
    7 Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.
    8 Ggwe obala okutambulatambula kwange: Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko; Tegawandiikibwa mu kitabo kyo?
    9 Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange.
    10 Mu Katonda nditendereza ekigambo kye: Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
    11 Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki?
    12 Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda: Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza eri ggwe.
    13 Kubanga wawonya emmeeme yange okufa: Tewawonya bigere byange okwesittala? Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda mu musana ogw'abantu abalamu.