• 1 Lwaki okwenyumiriza mu ttima, ggwe omuzira? Okusaasira kwa Katonda kwa lubeerera.
    2 Olulimi lwo luteesa eby'obubi obwereere; Ng'akamwano ak'obwogi, lukola n'obulimba.
    3 Oyagala ebibi okusinga ebirungi, N'okulimba okusinga okwatula amazima. (Seera)
    4 Oyagala ebigambo byonna ebiruma, Ggwe olulimi olw'obulimba.
    5 Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. (Seera)
    6 Era n'abatuukirivu baliraba, balitya, Balimusekerera, nga boogera nti
    7 Laba, ye wuuyo ataafuula Katonda maanyi ge; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Ne yeenyweza mu bubi bwe.
    8 Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni oguloka ennyo mu nnyumba ya Katonda: Neesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe.
    9 Naakwebazanga ennaku zonna, kubanga ggwe wakola bw'otyo : Era naalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.