• 1 Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa?
    2 Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.
    3 Taliganya kigere kyo okusagaasagana: Akukuuma taabongootenga.
    4 Laba, akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga.
    5 Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo.
    6 Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro.
    7 Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo.
    8 Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna.