• 1 Tukwebaza, ai Katonda; Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi: Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo.
    2 Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo, Ndisala emisango egy'ensonga.
    3 Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo: Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera)
    4 Nagamba ab'ekyejo nti Temugiranga kyejo: N'ababi nti Temuyimusanga jjembe:
    5 Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu.
    6 Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba, Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiika obwa ddyo.
    7 Naye Katonda ye mulamuzi: Atoowaza ono, n'oli amugulumiza.
    8 Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa.
    9 Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna, Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo.
    10 Era n'amayembe gonna ag'ababi naagazikirizanga; Naye amayembe g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga.