• 1 Abeesiga Mukama Baliŋŋanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna.
    2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, Ne Mukama bw'atyo bwe yeetooloola abantu be, Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.
    3 Kubanga omuggo ogufuga ogw'obubi tegulibeererawo ku mugabo ogw'abatuukirivu; Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana:
    4 Obakolenga ebirungi, ai Mukama, abalungi, N'abo abalina emitima egitali gya bukuusa.
    5 Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe agakyamye, Mukama alibafulumya wamu n'abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibeere ku Isiraeri.