• 1 Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange; Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga.
    2 Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.
    3 Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira: Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera)
    4 Okwata ku maaso gange nga gatunula: Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
    5 Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda.
    6 Njijukira oluyimba lwange ekiro Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
    7 Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate?
    8 Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?
    9 Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera)
    10 Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.
    11 Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.
    12 Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.
    13 Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?
    14 Ggwe Katonda akola eby'amagero: Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
    15 Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera)
    16 Amazzi gaakulaba, ai Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya: Era n'obuziba ne bukankana.
    17 Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne lireeta eddoboozi : Era n'obusaale bwo ne bubuna.
    18 Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna: Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.
    19 Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika.
    20 Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni.