• 1 Omutima gwange gujjudde musera ekigambo ekirungi: Njogera ebigambo bye mpandiise bya kabaka: Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu.
    2 Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo: Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna.
    3 Weesibe ekitala kyo mu kiwato kyo, ggwe ow'amaanyi. Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo.
    4 Ne mu bukulu bwo weebagale owangule, Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu: N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa.
    5 Obusaale bwo bwa bwogi; Amawanga gagwa wansi mu maaso go; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka.
    6 Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna: Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
    7 Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno.
    8 Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa mooli ne akaloosi ne kasiya; Mu mayumba ag'amasanga ennanga zikusanyusizza.
    9 Mu bakyala bo mulimu abambejja: Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri.
    10 Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo; Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo;
    11 Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo: Kubanga ye Mukama wo; era omusinze.
    12 N'omuwala wa Ttuulo alijja n'ekirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu balikwegayirira ekisa kyo.
    13 Omuwala wa kabaka munda mu lubiri wa kitiibwa kyereere: Olugoye lwe lukoleddwamu ne zaabu.
    14 Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde eby'amabala: Bawala banne abamugoberera Banaaleetebwa gy'oli.
    15 Banaaleetebwa n'okusanyuka n'okujaguza: Banaayingira mu nnyumba ya kabaka.
    16 Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna.
    17 Najjukizanga erinnya lyo emirembe gyonna: Amawanga kyeganaavanga kwebaza emirembe n'emirembe.