• 1 Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano;
    2 Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako:
    3 Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako:
    4 Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe:
    5 Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe.
    6 Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe.
    7 Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi: Omutego gukutuse, naffe tuwonye.
    8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.