• 1 Mukama omutima gwange si gwa malala, newakubadde amaaso gange tegeegulumiza; So sitambulira mu bigambo ebikulu. Newakubadde mu bigambo eby'ekitalo ebinnema.
    2 Mazima ŋŋonzezza emmeeme yange, ngisirisizza; Ng'omwana avudde ku mabeere awali nnyina, N'emmeeme yange eri we ndi bw'etyo ng'omwana avudde ku mabeere.
    3 Ggwe Isiraeri suubiranga Mukama Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.