• 1 Wulira ebigambo byange, ai Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange.
    2 Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: Kubanga nkusaba ggwe.
    3 Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula.
    4 Kubanga toli Katonda asanyusibwa obubi: Ebitasaana tebiituulenga gy'oli.
    5 Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go: Okyawa bonna abakola, ebitali bituukirivu.
    6 Olizikiriza aboogera eby'obulimba: Mukama akyawa omuntu atta n'alimbalimba.
    7 Naye ku lwange mu bungi bw'ekisa kyo naayingiranga mu nnyumba yo: Mu kukutya naasinzanga nga njolekera yeekaalu yo entukuvu.
    8 Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange; Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange.
    9 Kubanga tewali bwesigwa mu mimwa gyabwe: Omwoyo gwabwe bubi busa: Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Beegonza n'olulimi lwabwe.
    10 Obasseeko omusango, ai Katonda; Bagwe olw'okuteesa kwabwe bo: Obasindike mu kwonoona kwabwe okungi; Kubanga bakujeemedde ggwe.
    11 Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
    12 Kubanga oliwa omutuukirivu omukisa; Ai Mukama, olimwetoolooza ekisa ng'engabo.