• 1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.
    2 Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
    3 Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna.
    4 Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.
    5 Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu.
    6 Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we.
    7 Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
    8 Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.
    9 Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna.
    10 Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango egy'ensonga.
    11 Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo;
    12 Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu;
    13 Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'amazima ge.