• 1 Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo; Mu bungi obw'okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna.
    2 Onnaalize ddala mu bubi bwange, Onnongoose mu kwonoona kwange.
    3 Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso go bulijjo.
    4 Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala.
    5 Laba, nze natondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
    6 Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima; Era mu mwoyo ogutalabika onommanyisa amagezi.
    7 Ontukuze n'ezoobu, nange naaba mulungi: Onnaaze, nange naaba mutukuvu okusinga omuzira.
    8 Ompulize essanyu n'okwesiima; Amagumba ge wamenya gasanyuke.
    9 Okise amaaso go mu bibi byange, Osangule ebyonoono byange byonna.
    10 Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi munda yange.
    11 Tongoba w'oli; So tonziyaako omwoyo gwo omutukuvu.
    12 Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo: Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe.
    13 Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi; N'abalina ebibi balikyukira gy'oli.
    14 Omponye mu musango gw'omusaayi, ai Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange;
    15 Ai Mukama, yasamya emimwa gyange; N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo
    16 Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naakukuwadde; Ebiweebwayo ebyokebwa tebikuwoomera.
    17 Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.
    18 Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala: Okolere Yerusaalemi bbugwe.
    19 N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba: Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.