• 1 Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti Siwali Katonda. Bavunze, bakoze ebikolwa eby'obugwagwa; Siwali akola obulungi.
    2 Mukama yatunuulira ng'ayima mu ggulu abaana b'abantu, Okulaba nga waliwo abaategeera, Abaanoonya Katonda.
    3 Bonna bakyamye; boonoonese empitambi wamu; Siwali akola obulungi, newakubadde n'omu.
    4 Bonna abakola obutali butuukirivu tebalina magezi? Abalya abantu bange nga bwe balya emmere, So tebakoowoola Mukama.
    5 Eri baalina obuti bungi : Kubanga Katonda ali mu mirembe gy'abatuukirivu.
    6 Mukwasa ensonyi okuteesa kw'omwavu, Kubanga Mukama kye kiddukiro kye:
    7 Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni! Mukama bw'alizzaayo obusibe obw'abantu be, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.