• 1 Mumutendereze Mukama. Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama, Mutendereze erinnya lya Mukama.
    2 Erinnya lya Mukama lyebazibwenga Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
    3 Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.
    4 Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, N'ekitiibwa kye okusinga eggulu.
    5 Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, Alina entebe ye waggulu.
    6 Eyeetoowaza okutunuulira Ebiri mu ggulu ne mu nsi?
    7 Ayimusa omwavu mu nfuufu, Agolokosa omunafu mu lubungo;
    8 Amutuuze wamu n'abalangira, Wamu n'abalangira ab'abantu be.
    9 Atuuza mu nju omukazi omugumba, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mumutendereze Mukama.