• 1 Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange Isiraeri ayogere kaakano;
    2 Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange: Naye ne batampangula.
    3 Abakabala baakabala omugongo gwange; Baatema ensalosalo empanvu,
    4 Mukama mutuukirivu: Asazeesaze emigwa egy'ababi.
    5 Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe ennyuma, Bonna abakyawa Sayuuni.
    6 Babe ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, Oguwotoka nga tegunnakula:
    7 Omukunguzi n'atajjuza ogwo omukono gwe, Newakubadde asiba ebinywa ekifuba kye.
    8 Newakubadde abayita teboogera Nti Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe; Tubawadde omukisa mu linnya lya Mukama.