• 1 Mukama, nkukaabidde; oyanguwe okujja gye ndi: Owulire eddoboozi lyange, bwe nkukaabira.
    2 Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng'omugavu; Okugololwa kw'emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.
    3 Ossengawo okulabirira, ai Mukama, ku kamwa kange: Okuumenga omulyango gw'emimwa gyange.
    4 Tokyusanga mutima gwange eri ekibi kyonna. Okugenderera ebikolwa eby'obubi Awamu: n'abo abakola ebitali bya butuukirivu: So nnemenga okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.
    5 Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa; Era ambuulirirenga, ng'amafuta ku mutwe; Omutwe gwange gulemenga okugagaana: Kuba newakubadde, mu bubi bwabwe okusaba kwange kunaabeererangawo.
    6 Abalamuzi baabwe basuulibwa ku mabbali g'ejjinja; Nabo baliwulira ebigambo byange; kubanga biwoomerevu.
    7 Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaffe bwe gatyo gasaasaanidde ku kamwa k'amagombe.
    8 Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, ai Katonda Mukama: Nkwesiga ggwe; toleka mmeeme yange nga teriiko anannyamba.
    9 Onkuume eri omutego gwe bantegedde, N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
    10 Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo, Naye nze nga mpona.