• 1 Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.
    2 Onkebere, ai Mukama, onkeme; Ongezeeko emmeeme yange n'omutima gwange.
    3 Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange; Era natambuliranga mu mazima go.
    4 Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa.
    5 Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa, So siituulenga wamu na babi.
    6 Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona; Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama:
    7 Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza, Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo:
    8 Mukama, njagala ekisulo eky'omu nnyumba yo, N'ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu,
    9 Tonoga mmeeme yange wamu n'abalina ebibi, Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi:
    10 Emikono gyabwe girimu ettima, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi.
    11 Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange: Onnunule, era onsaasire.
    12 Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: Mu bibiina neebazanga Mukama.