• 1 Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abagolokoka okunnumba bangi.
    2 Bangi aboogera ku mmeeme yange Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera)
    3 Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma; Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange.
    4 N'eddoboozi lyange, nkoowoola Mukama, Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera)
    5 Naagalamira ne nneebaka; Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma.
    6 Siritya bukumi bwa bantu, Abaneetooloola okunnumba.
    7 Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange: Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama, Wamenya amannyo g'ababi.
    8 Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera)