• 1 Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya. Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
    2 Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu, Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.
    3 Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
    4 Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu: Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
    5 Emmeeme yange enekkusibwanga ng'obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka;
    6 Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro.
    7 Kubanga wabeera mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
    8 Emmeeme yange efuga okukugoberera: Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
    9 Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi w'ettaka.
    10 Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala: Balibeera mugabo gwa bibe.
    11 Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.