• 1 Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza; N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange.
    2 Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi; N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange.
    3 Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama.
    4 Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.
    5 Ebikolwa eby'ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, N'ebirowoozo byo ebiri gye tuli: Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu; Singa mbadde njagala okubibuulira n'okubyogerako, Tebibalika obungi.
    6 Ssaddaaka n'ebiweebwayo tobisanyukira; Amatu gange ogawulizza: Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala.
    7 Ne ndyoka njogera nti Laba nzize; Mu muzingo ogw'ekitabo ekyampandiikwako:
    8 Nsanyuka okukola by'oyagala, ai Katonda wange; Weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.
    9 Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene; Laba, ssiibunizenga mimwa gyange, Ai Mukama, ggwe omanyi.
    10 Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda; Mbuulidde obwesige bwo n'obulokozi bwo: Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
    11 Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi: Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.
    12 Kubanga obubi obutabalika bunneetoolodde, Obutali butuukirivu bwange buntuuseeko n'okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu; Businga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese.
    13 Kkiriza, ai Mukama, okumponya: Yanguwa okunnyamba, ai Mukama.
    14 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna wamu. Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza: Bazzibwe ennyuma banyoomebwe Abo abasanyukira nze okulaba akabi.
    15 Balekebwe olw'ensonyi zaabwe Abo abansooza.
    16 Bonna abakunoonya bakusanyukire bajaguze: Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Mukama agulumizibwe.
    17 Naye nze ndi mwavu, neetaaga; Mukama andowooza: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Tolwawo, ai Katonda wange.