Chapter 48

1 Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri era abavudde mu mazzi ga Yuda; abalayira erinnya lya Mukama, era aboogera ku Katonda wa Isiraeri, naye si mu mazima so si mu butuukirivu.
2 Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu, era beesigama ku Katonda wa Isiraeri; Mukama ow'eggye lye linnya lye.
3 Nabuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo, byava mu kamwa kange ne mbiranga: nabikola mangu ne bituukirira.
4 Kubanga namanya ng'oli mukakanyavu, n'ensingo yo kinywa kya kyuma, n'ekyenyi kyo kikomo;
5 kyennava nkikubuulira okuva edda; nga tekinnatuukirira nakiranga gy'oli: olemenga okwogera nti Ekifaananyi kyange kye kibikoze, n'ekifaananyi kyange ekyole n'ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde.
6 Wakiwulira; laba bino byonna; nammwe temulikibuulira? Nkulaze ebigambo ebiggya okuva mu biro bino, ebigambo ebyakwekebwa, by'otomanyanga.
7 Bitondeddwa kaakano so si kuva dda; eka okusooka olwa leero tobiwuliranga; olemenga okwogera nti Laba, nnali mbimanyi.
8 Weewaawo, towuliranga; weewaawo, tomanyanga; weewaawo, obw'edda bwonna okutu kwo tekuggukanga: kubanga namanya nga walyazaamaanya nnyo, era wayitibwa musobya okuva mu lubuto.
9 Olw'erinnya lyange ndyosaawo obusungu bwange, n'olw'ettendo lyange ndizibiikiriza gy'oli nneme okukuzikiriza.
10 Laba, nkulongoosezza naye si nga ffeeza; nkulondedde mu kikoomi kwe kubonyaabonyezebwa.
11 Ku lwange nze, ku lwange nze kyendiva nkikola; kubanga erinnya lyange bandirivumye batya? n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala:
12 Mpuliriza, ggwe Yakobo, ne Isiraeri gwe nnayita: nze nzuuyo; nze w'olubereberye, era nze w'enkomerero.
13 Weewaawo, omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw'ensi, n'omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu: bwe mbiyita ne biyimirira wamu.
14 Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire; ani ku bo eyali abuulidde ebyo? Mukama yamwagala: alikola Babulooni by'ayagala, n'omukono gwe guliba ku Bakaludaaya.
15 Nze, nze mwene, njogedde; weewaawo, mmuyimuse; mmuleese, era olugendo lwe alirulabisa omukisa.
16 Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye soogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi: era kaakano Mukama Katonda antumye n'omwoyo gwe.
17 Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu.
18 Singa wawulira amateeka gange! kale emirembe gyo gyandibadde ng'omugga, n'obutuukirivu bwo ng'amayengo g'ennyanja:
19 era n'ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, n'ab'enda yo ng'empeke zaagwo: erinnya lye teryandisanguliddwa so teryandizikiridde mu maaso gange.
20 Mufulume mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya; mubuulire mwogere kino mukirange n'okutuusa enkomerero y'ensi n'eddoboozi ery'okuyimba: mwogere nti Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.
21 So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu: yabakulukusiza amazzi mu lwazi: era yayasa n'olwazi, amazzi ne gatiiriika.
22 Tewali mirembe eri ababi, bw'ayogera Mukama.