Chapter 21
1 Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiika obwa ddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa.
2 Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n'omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu: zingiza, ggwe Obumeedi; okussa ebikkowe kwayo kwonna nkukomezza.
3 Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala: nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋetereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba.
4 Omutima gwange guwejjawejja, okwesisiwala kunkanze: ekiro kye nnali neegomba kifuuse gye ndi kukankana.
5 Bategeka emmeeza, bassaswo abakuumi, balya, banywa: mugolokoke, mmwe abakulu, musiige amafuta ku ngabo.
6 Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'analaba:
7 era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi.
8 N'akaaba ng'empologoma nti Ai Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi muggalire.
9 era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu. N'addamu n'ayogera nti Babulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bimenyese okutuuka ku ttaka.
10 Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange: ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.
11 Omugugu gwa Duuma. Waliwo ampita ng'ayima ku Seyiri nti Omukuumi, eby'ekiro bitya? Omukuumi, eby'ekiro bitya?
12 Omukuumi n'ayogera nti Enkya ejja, era n'ekiro: bwe mwagala okubuuza, mubuuze: mukyuke mujje.
13 Omugugu oguli ku Buwalabu. Mu kibira mu Buwalabu mwe mulisula, mmwe ebibiina ebya Abadedeni ebitambula.
14 Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetera amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe.
15 Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego omunaanule, n'obubi bw'entalo.
16 Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo:
17 n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaaayi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.