Chapter 40
1 Musanyuse, musanyuse abantu bange, bw'ayogera Katonda wammwe.
2 Mwogere eby'okusanyusa Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze zimalirizibbwa, ng'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; ng'aweereddwa mu mukono gwa Mukama emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna.
3 Eddoboozi lyayogerera waggulu nti Mulongoose mu lukoola ekkubo lya Mukama, mugololere mu ddungu Katonda waffe oluguudo.
4 Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n'akasozi zirikkakkanyizibwa: n'obukyamu buligololwa, n'ebifo ebitali bisende biritereezebwa
5 n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
6 Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti Naayogerera ki waggulu? Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋanga ekimuli eky'omu nnimiro:
7 omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako: mazima abantu muddo:
8 Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera: naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.
9 Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, Katonda wammwe!
10 Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira: laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
11 Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.
12 Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima?
13 Ani eyali aluŋŋamizza omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n'amuyigiriza?
14 Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza, n'amutegeeza mu kkubo ery'omusango, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera?
15 Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'effufugge eriri mu minzaani: laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.
16 Ne Lebanooni tamala kuba nku, so n'ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa.
17 Amawanga gonna gali nga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya.
18 Kale ani gwe mulifaananya Katonda: oba kifaananyi ki kye mulimugererako?
19 Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza.
20 Ayinze obwavu n'okuyinza n'atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda; yeenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka.
21 Temunnamanya? temunnawulira? temubuulirwanga okuva ku lubereberye, temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi?
22 Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu:
23 afuula abalangira obutaba kintu; afuula abalamuzi b'ensi okuba ebirerya.
24 Weewaawo, tebasimbibwanga weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mmizi mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku.
25 Kale ani gwe mulinfaananya nze okumwenkana? bw'ayogera Omutukuvu.
26 Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw'ali, afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabwe bwe guli: byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.
27 Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange?
28 Tonnamanya? tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka.
29 Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n'abalenzi baligwira ddala:
31 naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.