Chapter 60
1 Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.
2 Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
3 N'amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng'ovaayo.
4 Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi.
5 Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa, n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli, obugagga obw'amawanga bulikujjira.
6 Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira ez'e Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.
7 Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza: zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange.
8 Bano be baani ababuuka ng'ekire era nga bukaamukuukulu eri ebituli byabwo?
9 Mazima ebizinga birinnindirira, n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo, olw'erinnya lya Mukama Katonda wo n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa.
10 Era bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa.
11 Era n'enzigi zo ziaaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe.
12 Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala.
13 Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; okuwoomya ekifo eky'awatukuvu wange, era ndifuula ekifo eky'ebigere byange okuba eky'ekitiibwa.
14 N'abaana b'abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n'abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri.
15 Kubanga walekebwa n'okyayibwa ne wataba muntu ayita mu ggwe, ndikufuula okuba obulungi obungi obutaliggwaawo, essanyu ery'emirembe emingi.
16 N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Owaamaanyi owa Yakobo.
17 Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky'ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja ndireeta kyuma: era. ndifuula abaami bo okuba emirembe n'abakusolooza okuba obutuukirivu.
18 Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n'enzigi zo Kutendereza.
19 Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa: naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo.
20 Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n'omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo.
21 Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa.
22 Omuto alifuuka lukumi n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.