Chapter 3
1 Kubanga; laba, Mukama, Mukama ow’eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n'ekyo kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna eky'emmere, n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi;
2 omusajja ow'amaanyi, n'omusajja omuzira; omulamuzi, ne nnabbi, n'omulaguzi, n'omukadde;
3 omukulu ow'amakumi ataano n'ow'ekitiibwa n'ateesa ebigambo ne ffundi ow'amagezi n'omufumu ow'obukabakaba.
4 Era ndireeta abaana okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga.
5 Era abantu balijoogebwa, buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we: omuto aligirira ekyejo omukadde, n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa.
6 Omuntu bw'alikwata muganda we mil nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, a'okubula kuno kubeere wansi w'omukono gwo:
7 ku lunaku olwo aliyimusa eddoboozi lye, ng'ayogera nti Sijja kuba muwonya; kubanga mu nnyumba yange temuli mmere newakubadde eby'okwambala: temujja kunfuula mufuzi wa bantu.
8 Kubanga Yerusaalemi kizikiridde, ne Yuda agudde: kubanga olulimi lwabwe n'ebikolwa byabwe biwakanya Mukama, okusunguwaza amaaso ag'ekitiibwa kye.
9 Ekifaananyi ky'obwenyi bwabwe kitegeeza nga gubasinze; era babuulira ekibi kyabwe nga Sodomu, tebakikisa. Zisanze obulamu bwabwe! kubanga beesasulidde bokka obubi.
10 Mwogere ku mutuukirivu nti anaabanga bulungi: kubanga banaalyanga ebibala by'ebikolwa byabwe.
11 Zisanze omubi anaabanga bubi: kubanga anaaweebwanga empeera y'engalo ze.
12 Abantu bange abaana abato be babajooga, era abakazi be babafuga. Woowe abantu bange, ababakulembera babakyamya, era bazikiriza ekkubo lyammwe eritambulirwamu.
13 Mukama ayimirira okuwoza, era ayimirira okusala omusango gw'amawanga.
14 Mukama alisala omusango gw'abakadde b'abantu be n'abalangira baabwe: Mmwe mwaliira ddala olusuku lw'emizabbibu; omunyago gw'omwavu guli mu nnyumba zammwe:
15 mubadde ki okubetentanga abantu bange, n'okusanga amaaso g'abaavu? bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
16 Era nate Mukama yayogera nti Kubanga abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo era nga balina amaaso ag'obukaba, nga batambula era nga bakumba bwe bagenda, era nga bavuza ebigere byabwe:
17 Mukama kyaliva alwaza ebikakampa obwezinge bw'omutwe gw'abawala ba Sayuuni, Mukama n'abikkula ku nsonyi zaabwe.
18 Ku lunaku olwo Mukama aliggyako obuyonjo bw'amasamba gaabwe, n'enkundulu zaabwe, n'ebifaanana ng'emyezi;
19 n'emijugo, n'emisagga, n'engoye ez'oku maaso;
20 ebiremba, n'obudangadi, n'enneebagyo, n'obucupa obw'akaloosa, n'ensiriba;
21 empeta n'empeta ez'omu nnyindo;
22 engoye ez'amabala, n'eminagiro, n'essuuka, n'ensawo;
23 endabirwamu, ne bafuta, n'ebiremba, n'ezibikka ku mitwe.
24 Awo olulituuka awaali eby'akaloosa walibaawo ekivundu; n'awaali olwebagyo mugwa; n'awaali enviiri ensunsule obulungi kiwalata; n’awaali ekizibawo kwesiba kibukutu: awaali obuyonjo kwokebwa.
25 Abasajja bo ekitala kiribatta, n'abazira bo balifiira mu ntalo.
26 N'enzigi ze zirikaaba ziriwuubaala; era ye a1iba munaku, alituula ku ttaka.