Chapter 43
1 Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti Totya, kubanga nakununula; nakuyita erinnya lyo, oli wange.
2 Bw'onooyitanga mu mazzi, naabeeranga naawe; ne mu migga, tegirikusaanyaawo: bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga; so n'omuliro tegulyakira ku ggwe.
3 Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo, Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo; nawaayo Misiri okuba ekinunulo kyo, Kuusi ne Seba ku lulwo.
4 Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo.
5 Totya; kubanga nze ndi wamu naawe: ndireeta ezzadde lyo okuliggya ebuvanjuba ne nkukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba;
6 ndigamba obukiika obwa kkono nti Waayo; n'obukiika obwa ddyo nti Togaana nabo; leeta batabani bange okubaggya ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi;
7 buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; nze namubumba; weewaawo, namukola.
8 Fulumya abazibe b'amaaso abalina amaaso n'abaggavu b'amatu abalina amatu.
9 Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu n'abantu beetabe: ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n'atulaga ebyasooka okubaawo? baleete abajulirwa baabwe baweebwe obutuukirivu: oba bawulire boogere nti Bya mazima.
10 Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama n'omuweereza wange gwe nnalonda mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra.
11 Nze, nze mwene, nze Mukama so tewali mulokozi wabula nze.
12 Nze nabuulira era nalokola era nalaga, so tewabanga mu mmwe katonda mulala: kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, nange ndi Katonda.
13 Weewaawo, omusana kasookedde gubaawo era nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya mu mukono gwange: ndikola omulimu, era ani ali guziyiza?
14 Bw'atyo bw'ayogera Mukama omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Ku lwammwe natuma e Babulooni, era ndibaserengesa bonma ng'abadduse, be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe.
15 Nze ndi Mukama Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe.
16 Bw'atyo bw'ayogera Mukama akuba oluguudo mu nnyanja n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi.
17 afulumya eggaali n'embalaasi eggye n'obuyinza; bagalamira wamu, tebaligolokoka; bazikiridde, bazikidde ng'enfuuzi: nti
18 Temujjukira ebyasooka okubaawo, so temulowooza bigambo bya dda.
19 Laba, ndikola ekigambo ekiggya kaakano kirirabika; temulikimanya ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu.
20 Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange:
21 abantu be nneebumbira nzekka boolesenga ettendo lyange.
22 Naye tonkaabiranga, ggwe Yakobo; naye wantamwa, ggwe Isiraeri.
23 Tondeeteranga nsolo ntono ey'ebibyo ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikuweerezesanga n'ebiweebwayo so sikukooyesanga na mugavu.
24 Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza, so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo naye ggwe wampeerezesa n'ebibi byo, wankooyesa n'obutali butuukirivu bwo.
25 Nze, nze mwene, nze nzuuyo sangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo.
26 Njijukiza; tuwoze fembi: leeta ensonga yo olyoke oweebwe obutuukirivu.
27 Kitaawo eyasooka yayonoona n'abategeeza bo bansobya.
28 Kyendiva nvumisa abakulu ab'omu watukuvu, era ndifuula Yakobo ekikolimo ne Isiraeri ekivume.