Chapter 16
1 Muweereze abaana b'endiga b'oyo afuga ensi okuva e Seera ekyolekera eddungu okutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni.
2 Kubanga olulituuka ng'ennyonyi ezaabula ng'ekisu ekyasaasaana bwe batyo bwe baliba bawala ba Mowaabu ku misomoko gya Alunoni.
3 Teesa ebigambo, mala omusango; fuula ekisiikirize kyo okuba ng'ekiro wakati mu ttuntu: kweka abagobeddwa; tolyamu lukwe adaagana.
4 Abange abagobeddwa batuule naawe; Mowaabu, beera kiddukiro gy'ali mu maaso g'omunyazi: kubanga omukanga azikiridde, okunyaga kuwedde, abajoozi bakomye mu nsi.
5 N'entebe ey'obwakabaka eneenywezebwanga mu kusaasira, era walibaawo aligituulako mu mazima, mu weema ya Dawudi; ng'asala emisango, era ng'agoberera eby'ensonga, era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu.
6 Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga wa malala mangi nnyo; ekyejo kye n'amalala ge n'obusungu bwe; okwenyumiriza kwe tekuliimu.
7 Mowaabu kyaliva awowogganira Mowaabu, buli muntu aliwowoggana: mulinakuwalira emigaati egya zabbibu egy'e Kirukaleseesi, nga mukubiddwa ddala.
8 Kubanga ennimiro ez'e Kesubooni ziwotoka, n'omuzabbibu ogw'e Sibuma; abakungu ab'amawanga bamenyedde ddala emiti gyagwo egyasinga obulungi; gyabuna okutuuka e Yazeri, gyatuuka mu ddungu; amatabi gaagwo gaalanda, gaasomoka ennyanja.
9 Kyennaava nkaabira amaziga awamu n'okukaaba kwa Yazeri olw'omuzabbibu ogw'e Sibuma: naakufukirira amazzi n'amaziga gange, ggwe Kesubooni ne Ereyale: kubanga ku bibala byo eby'ekyengera ne ku bikungulwa byo kukubiddwako olube.
10 N'essanyu liggiddwawo, n'emizira giwedde mu nnimiro eŋŋimu; ne mu nsuku z'emizabbibu temuliba kuyimba, newakubadde eddoboozi ery'okusanyuka: tewaliba musogozi alisogolera omwenge mu masogolero; nkomezza emizira gy'abasogozi.
11 Ebyenda byange kyebiva bikaabira Mowaabu ng'ennanga, ne munda wange mmukaabira Kirukeresi.
12 Awo olulituuka, Mowaabu bw'alyeyanjula, bw'alyekooya ku kifo ekigulumivu, n'ajja mu watukuvu we okusaba, talisobola.
13 Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby'edda.
14 Naye kaakano Mukama ayogedde nti Emyaka esatu nga teginnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonna ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono nnyo so tebaliba kintu.