Chapter 57
1 Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako omwoyo; n'abantu ab'ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja.
2 Ayingira mu mirembe; bawummulira ku bitanda byabwe, buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe.
3 Naye musembere wano, mmwe batabani b'omukazi omulogo, ezzadde ly'omwenzi n'omukazi omutambuzi.
4 Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana ba kusobya, zzadde lya bulimba,
5 mmwe abeereetera okwegomba mu mivule, wansi wa buli muti ogumera; abattira abaana mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi?
6 Mu mayinja amaweweevu ag'omu kiwonvu we wali omugabo gwo; ago, ago kye kitundu kyo: ago ge wafuukira ekiweebwayo ekyokunywa, ge wawa ekirabo. Ndiwooyawooyezebwa ebyo nga bibaddewo?
7 Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo: era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka.
8 Era wasimba ekijjukizo kyo ennyuma w'enzigi n'emifuubeeto: kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye; ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira.
9 N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu, n'oyongera kalifuwa wo, n'otuma wala ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe.
10 Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n'otoyogera nti Tewali ssuubi: walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika.
11 Era ani gwe watya n'otekemuka n'okulimba n'olimba n'otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw'edda saasirika busirisi, naawe n'otontya?
12 Ndibuulira obutuukirivu bwo, n'ebikolwa byo nabyo tebirikugasa.
13 Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna: naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu.
14 Era alyogera nti Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange.
15 Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde.
16 Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola.
17 Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nakweka amaaso gange ne nsunguwala: ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe.
18 Ndabye amakubo ge; era ndimuwonya: n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n'abo abamukaabirako.
19 Nze ntonda ebibala eby'emimwa: Emirembe, emirembe eri oyo ali ewala n'eri oyo ali okumpi, bw'ayogera Mukama; nange ndimuwonya.
20 Naye ababi baliŋŋanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro.
21 Tewali mirembe, bw'ayogera Katonda wange, eri ababi.