Chapter 13
1 Omugugu gwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba.
2 Muwanike ebendera ku lusozi olw'obweru, mubayimusize eddoboozi, muwenye n'omukono, bayingire mu miryango egy'abakungu.
3 Ndagidde abawonge bange, weewaawo, mpise abasajja bange ab'amaanyi olw'obusungu bwange, abange abeenyumiriza n'amalala.
4 Oluyoogaano lw'ekibiina ku nsozi ng'olweggwanga eddene! oluyoogaano olw'okuleekaana kw'obwakabaka obw'amawanga nga gakuŋŋaanye! Mukama ow'eggye akuŋŋaanyizza eggye olw'olutalo.
5 Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eggulu, Mukama n'ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe, okuzikiriza ensi yonna.
6 Muwowoggane; kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.
7 Emikono gyonna kyegiriva giddirira na buli mutima gw'omuntu gulisaanuuka:
8 era balikeŋŋentererwa okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: baliwuniikirira bokka na bokka; amaaso gaabwe galiba maaso ga muliro.
9 Laba olunaku lwa Mukama lujja, olukambwe, nga lulina obusungu n'ekiruyi; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.
10 Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi tegulyaka musana gwagwo.
11 Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwabwe n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala, era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa.
12 Ndifuula omusajja okuba ow'omuwendo okusinga ezaabu ennungi omusajja okusinga ezaabu ennungi eya Ofiri.
13 Kyendiva nkankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa okuva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow'eggye, ne ku lunaku olw'ekiruyi kye.
14 Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa era ng'endiga ezitaliiko musumba, balikyuka buli muntu okudda mu bantu b'ewaabwe ye, era balidduka buli muntu mu nsi yaabwe ye.
15 Buli anaalabikanga anaafumitibwanga; na buli anaawambibwanga anaagwanga n'ekitala.
16 N'abaana baabwe abawere balimenyerwamenyerwa mu maaso gaabwe; ennyumba zaabwe zirinyagibwa, n'abakazi baabwe balikwatibwa lwa maanyi:
17 Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaayo mwoyo eri effeeza, n'ezaabu tebaligisanyukira.
18 N'emitego gyabwe girimenyaamenya abavubuka so tebalisaasira zzadde lya lubuto; eriiso lyabwe teririsonyiwa baana bato.
19 Ne Babulooni, ekitiibwa eky'obwakabaka, obulungi obw'amalala ag'Abakaludaaya, kiriba nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola.
20 Tekiisulibwengamu ennaku zonna, so tekiibeerwengamu emirembe n'emirembe: so n'Omuwalabu taasimbegayo weema; so n'abasumba tebaagalamizengayo nbuzi zaabwe.
21 Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebya zigeye binaaziniranga eyo.
22 N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ebinyumu: n'ekiseera kyakyo kiri kumpi n'okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako.