Chapter 54
1 Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala: kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama.
2 Gaziya ekifo eky'eweema yo, era babambe amagigi g'ennyumba zo; tokwata mpola: wanvuya emigwa gyo, onyweze enkondo zo.
3 Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono; n'ezzadde lyo lirirya amawanga, era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo.
4 Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi: so toswala; kubanga ensonyi tezirikukwata: kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buto bwo, n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 Kubanga Omutonzi wo ye balo; Mukama ow'eggye lye linnya lye: era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo; aliyitibwa Katonda wa nsi zonna.
6 Kubanga Mukama akuyise ng'omukazi eyalekebwayo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike, omukazi ow'omu buvubuka, bw'agobebwa, bw'ayogera Katonda wo.
7 Akaseera akatono nkuleseewo; naye ndikukuŋŋaanya n'okusaasira kungi.
8 Obusungu obwanjaala nga bunkutte naakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo.
9 Kubanga ekyo kiri ng'amazzi ga Nuuwagye ndi: kuba nga bwe nnalayira ng'amazzi ga Nuuwa tegakyayanjaala ku nsi bwe ntyo bwe nnalayira nga sirikusunguwalira so sirikunenya.
10 Kubanga ensozi zirivaawo n'obusozi buliggibwawo; naye ekisa kyange tekirikuvaako so n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo, bw'ayogera Mukama akusaasira.
11 Ggwe abonyaabonyezebwa asuukundibwa n'omuyaga so tosanyusibwa, laba, nditeeka amayinja go mu mabala amalungi, ne nsimba emisingi gyo ne safiro.
12 N'ebitikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu, n'enzigi zo ne kabunkulo, n'ensalo yo yonna n'amayinja agasanyusa.
13 N'abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n'emirembe gy'abaana bo giriba mingi.
14 Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa: onoobanga wala n'okujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera.
15 Laba, mpozzi balikuŋŋaana naye si nze ndibakuŋŋaanya: buli alikukuŋŋaanirako aligwa ku lulwo.
16 Laba, natonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe; era natonda n'omuzikiriza okufaafaaganya.
17 Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw'abaddu ba Mukama n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama.