Chapter 15
1 Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo; kubanga mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo.
2 Ayambuse e Bayisi ne Diboni, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga: Mowaabu awowogganira Nebo ne Medeba: ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa.
3 Beesibira ebibukutu mu nguudo zaabwe: waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu awowoggana, ng'akaaba nnyo amaziga.
4 Ne Kesuboni alira, ne Ereyale; eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi: basserikale ba Mowaabu kyebava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye.
5 Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya: kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu okukaaba okw'okuzikirira.
6 Kubanga amazzi ag'e Nimulimu galirekebwawo: kubanga omuddo guwotokedde ddala, omuddo omugonvu guggwaawo, tewali kintu kimera.
7 Ebintu ebingi bye bafunye n'ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw'enzingu.
8 Kubanga okukaaba kwetoolodde ensalo za Mowaabu; okuwowoggana kwakwo kutuuse e Yegulayimu, n'okuwowoggana kwakwo kutuuse e Beererimu.
9 Kubanga amazzi ag'e Dimoni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Dimoni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi.