Chapter 36

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n'ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera, n'abimenya.
2 Awo kabaka w’e Bwasuli n'agaba Labusake okuva e Lakisi okugenda e Yerusaalemi eri kabaka Keezeekiya ng'alina eggy'e eddene. N'ayimirira ku mabbali g'olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu mu luguudo olw'ennimiro ey'omwozi.
3 Awo ne bafuluma ne bajja gy'ali Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali omukulu w'ennyumba, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza.
4 Labusake n'abagamba nti Mugambe kaakano Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli, nti Bwesige ki buno bwe weesiga?
5 Nze ŋŋamba nti okuteesa kwo n'amaanyi olw'entalo bigambo bugambo ebitaliimu: ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera nze?
6 Laba, weesigama ku muggo ogw'olumuli luno olubetentefu, ye Misiri; omuntu bwe yeesigama okwo, guyingira mu ngalo ze ne guzifumita: bw'atyo bw'abeera Falaawo kabaka w'e Misiri eri abo bonna abamwesiga.
7 Naye bw'onoŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino?
8 Kale nno kaakano, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli nange naakuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe ku bubwo bw'onooyinza okuzeebagazaako abantu.
9 Kale oyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi?
10 Era kaakano nnyambuse okutabaala ensi eno okugizikiriza awatali Mukama? Mukama yaŋŋamba nti Yambuka otabaale ensi eno ogizikirize.
11 Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe.
12 Naye Labusake n'ayogera nti Mukama wange antumye eri mukama wo n'eri ggwe okwogera ebigambo bino? tantumye eri abantu abatuula ku bbugwe, okulya amazi gaabwe bo, n'okunywa enkali yaabwe bo awamu nammwe?
13 Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddene mu lulimi olw'Abayudaaya n'ayogera nti Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli.
14 Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimbanga; kubanga taliyinza kubawonya:
15 so Keezeekiya tabasigulanga eri Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutuwonya; ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.
16 Temuwuliranga Keezeekiya: kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi; mulyenga buli muntu ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era munywenga buli muntu ku mazzi ag'omu kidiba kye ye:
17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku z'emizabbibu.
18 Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng'ayogera nti Mukama alituwonya. Waliwo katonda yenna ow'amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?
19 Bali ludda wa bakatonda ab'e Kamasi n'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda ab'e Sefavayimu? era baawonya Samaliya mu mukono gwange?
20 Baani ku bakatonda bonna ab'ensi ezo abaawonya ensi yaabwe mu mukono gwange, Mukama okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?
21 Naye ne basirika ne batamwanukula kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kiti nti Temumwanukulanga.
22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.