Chapter 27

1 Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n'ekitala kye eky'obwogi ekinene eky'amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja.
2 Ku lunaku luli Olusuku olw'emizabbibu olw'omwenge muliruyimbira.
3 Nze Mukama ndukuuna; naalufukiriranga amazzi buli kaseera: ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, naalukuumanga emisana n'ekiro.
4 Ekiruyi tekiri mu nze: singa katazamiti n'amaggwa gannumbye mu lutalo! nandigatabadde, nandigookedde wamu.
5 Oba akwate ku maanyi gange, atabagane nange; weewaawo, atabagane nange.
6 Mu biro ebiribaawo Yakobo alisimba emmizi; Isiraeri alyanya alimulisa: era balijjuza ensi yonna ebibala.
7 Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba? oba attiddwa ng'abo bwe battibwa be yatta?
8 Bw'omusindika okugenda owakana naye mu kigero; amujjuludde n'okuwuuma kwe okw'amaanyi ku lunaku olw'embuyaga eziva ebuvanjuba.
9 Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n'ekyo, era ekyo kye kibala kyonna eky'okuggyako ekibi kye; bw'afuula amayinja gonna ag'ekyoto ng'ebisibosibo ebisekulwasekulwa, Baasera n'ebifaananyi by'enjuba n'okuyimuka ne bitayimuka nate.
10 Kubanga ekibuga ekyabangako enkomera kifulukwa, matongo agalekeddwawo, ng'eddungu: awo ennyana w'eririira, era awo w'erigalamira n'erya amatabi gaamu.
11 Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa; abakazi balijja ne bagookya: kubanga be bantu abatalina magezi; eyabakola kyaliva alema okubasaasira, era eyababumba talibalaga kisa.
12 Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikuŋŋunta okuva ku ntaba ez'Omugga okutuusa ku mugga ogw'e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri.
13 Awo olulituuka ku lunaku luli ekkondeere eddene lirifuuyibwa; era balijja abo abaali beeteeseteese okuzikirira mu nsi y'e Bwasuli n'abo abaali bagobeddwa mu nsi y'e Misiri; era balisinziza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.