Chapter 39
1 Mu biro ebyo Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka w'e Babulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye.
2 Keezeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'ennyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye, ne byonna ebyalabika mu bugagga bwe: tewaali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
3 Awo Isaaya nabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era baava wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ya wala okujja gye ndi, baava e Babulooni.
4 Awo n'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu bugagga bwange kye ssibalaze.
5 Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama ow'eggye,
6 Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama.
7 Ne ku batabani bo abaliva mu ggwe b'olizaala balibatwalako; era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.
8 Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Kavuna wanaabanga emirembe n'amazima mu mirembe gyange.