Chapter 63
1 Ani ono ava mu Edomu, ng'alina ebyambalo ebinnyike mu ddagala ng'ava e Bozula? ono alina engoye ez'ekitiibwa, ng'atambuza amaanyi ge amangi? Nze ayogera obutuukirivu, ow'amaanyi okulokola.
2 Obeeredde ki omumyufu mu byambalo byo, engoye zo ne zifaanana oyo asambira mu ssogolero?
3 Nsambye essogolero omu nzekka so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange: weewaawo, nabasamba mu busungu bwange ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange era engoye zange zonna zijjudde amabala.
4 Kubanga olunaku olw'okuwalanirwako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse.
5 Ne mmagamaga ne wataba muyambi; ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira: omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi n'ekiruyi kyange kye kyampanirira.
6 Ne nninnyirira amawanga wansi mu busungu bwange, ne mbatamiiza ku kiruyi kyange, ne nfuka ku ttaka omusaayi ogw'obulamu bwabwe.
7 Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi n'amatendo ga Mukama, nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama; n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri, bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli era ng'olufulube bwe luli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi.
8 Kubanga yayogera nti Mazima be bantu bange, abaana abatalikuusakuusa: kale n'aba mulokozi waabwe.
9 Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga: mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abeetikkiranga ennaku zonna ez'edda.
10 Naye ne bajeema ne banakuwaza omwoyo gwe omutukuvu: kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe; n'alwana nabo ye yennyini.
11 Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda, Musa n'abantu be, ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja wamu n'abasumba b'endiga ze? ali ludda wa oyo eyateeka omwoyo gwe omutukuvu wakati mu bo?
12 eyatambuzanga omukono gwe ogw'ekitiibwa awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa? eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe okwekolera erinnya eritaliggwaawo?
13 eyabayisa mu buziba, ng'embaalasi mu ddungu, obuteesittala?
14 Ng'ente bwe ziba ezikka mu kiwonvu, omwoyo gwa Mukama gwabawummuzanga bwe gutyo: bwe watwala bw'otyo abantu bo okwekolera erinnya ery'ekitiibwa.
15 Tunula ng'oyima mu ggulu, olabe ng'oyima mu nnyumba ey'obutukuvu bwo n'ekitiibwa kyo: buli ludda wa obunyiikivu bwo n'ebikolwa byo eby'amaanyi? okwagala kw'emmeeme yo n'okusaasira kwo kuziyizibwa gye ndi.
16 Kubanga gwe Kitaffe, newakubadde nga Ibulayimu tatumanyi so ne Isiraeri ga tatukkiriza: ggwe, ai Mukama, gwe Kitaffe; omununuzi waffe okuva emirembe n'emirembe lye linnya lyo.
17 Ai Mukama, lwaki gwe okutukyamya mu makubo go n'okakanyaza omutima gwaffe obutakutya? Komawo ku lw'abaddu bo, ebika eby'obusika bwo.
18 Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera kaseera buseera: abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo.
19 Tufuuse ng'abo b'otofuganga; ng'abo abatatuumibwanga linnya lyo.