Chapter 5
1 Nnyimbire muganzi wange oluyimba olw'omwagalwa wange ebigambo by'olusuku lwe olw'emizabbibu. Muganzi wange yalina olusuku olw'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo:
2 n'alusimira olusalosalo, n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu omuzabbibu omulungi ennyo nnyini, n'aluzimbamu wakati ekigo, era n'alusimamu essogolero: n'asuubira lubale zabbibu, ne lubala zabbibu ez'omu nsiko.
3 Kale nno, mmwe abatuula mu Yerusaalemi nammwe abasajja ba Yuda, mutusalire omusango, mbeegayiridde, nze n'olusuku lwange olw'emizabbibu.
4 Nandiyinzizza kukola ki nate olusuku lwange olw'emizabbibu kye nnalema okulukola? Bwe nnasuubira lubale zabbibu, ekyalubaza zabbibu ez'omu nsiko kiki?
5 Kale nno kaakano ka mbategeeze kye nnaakola olusuku lwange olw'emizabbibu: naggyako olukomera lwalwo, era luliriirwa ddala; naamenyera ddala ekisaakaate kyalwo, era lulirinnyrirwa ddala:
6 era naaluzisa; tebaalusalirenga so tebaalulimenga; naye mulimeramu emyeramannyo n'amaggwa: era ndiragira ebire obutalutonnyesangako nkuba.
7 Kubanga olusuku olw'emizabbibu olwa Mukama ow'eggye ye nnyumba ya Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubira okusala ensonga, naye, laba, kujooga; obutuukirivu, naye, laba, kukaaba.
8 Zibasanze abo abagatta ennyumba n'ennyumba ginnaayo, abongera ennimiro ku nnimiro ginnaayo, okutuusa ebbanga lwe liggwaawo, nammwe n'okutuula ne mutuula mwekka wakati mu nsi!
9 Mu matu gange ayogera Mukama ow'eggye nti Mazima ennyumba nnyingi ziriba bifulukwa, ennene era ennungi, nga tewali azituulamu.
10 Kubanga ensuku ez'emizabbibu kkumi zinaavangamu ekibbo kimu, n'ogusera ogw'ensigo gunaavangamu ekibbo kimu kyokka.
11 Zibasanze abo abakeera enkya mu makya okugolokoka, bagoberere ekitamiiza; abalwawo ekiro okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa!
12 Era ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge biri mu mbaga zaabwe: naye tebalowooza mulimu gwa Mukama, so tebannassa ku mwoyo okukola kw'engalo ze.
13 Abantu bange kyebavudde bagenda mu bunyage, olw'okubulwa okumanya: n'abasajja baabwe ab'ekitiibwa balumiddwa enjala, n'ekibiina kyabwe ennyonta ebasse.
14 Amagombe kyegavudde gagaziya okwegomba kwago, era gaasamizza akamwa kaago ekitayasamizika: n'ekitiibwa kyabwe n'obungi bwabwe n'oluyoogaano lwabwe n'oyo asanyuka mu bo bikka omwo.
15 Era omukopi akutamizibwa, n'omukulu atoowazibwa, n'amaaso g'ab'amalala gatoowazibwa:
16 naye Mukama ow'eggye agulumizibwa olw'omusango, era Katonda Omutukuvu atukuzibwa olw'obutuukirivu.
17 Abaana b'endiga ne ziryoka zirya nga mu ddundiro lyazo, era ebifo ebyazika eby'abagevvu abatambuze balibirya.
18 Zibasanze abo abawalula obutali butuukirivu n'akagwa ak'obulimba, abawalula ekibi nga n'omugwa ogw'eggaali:
19 aboogera nti Ayanguyeeko, asambyeko omulimu gwe tugulabe: n'okuteesa kw'Omutukuvu wa Isiraeri kusembere kutuuke tukumanye!
20 Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka okukaawa mu kifo ky'okuwoomerera, n'okuwoomerera mu kifo ky'okukaawa!
21 Zibasanze abo abalina amagezi mu maaso gaabwe bo, era abakabakaba mu kulaba kwabwe bo!
22 Zibasanze abo abalina amaanyi okunywa omwenge, era abazira okutabula ekitamiiza:
23 abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi; era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe!
24 Kale ng'olulimi lw'omuliro bwe lyokya ensambu, era ng'essubi ekkalu bwe likka mu muliro, bwe kityo ekikolo kyabwe kiriba ng'ekivundu, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri.
25 Obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuuka ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubalumba, era abasse, ensozi ne zikankana; n'emirambo gyabwe ne giba ng'ebisasiro wakati mu nguudo. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
26 Era aliyimusiza amawanga ebendera ng'ayima wala, alibakoowoola ng'ayima ku nkomerero y'ensi: era, laba, balyanguwa mangu okujja:
27 tewaliba mu bo alikoowa newakubadde alyesittala; tewaliba alibongoota newakubadde alyebaka; so n'olukoba lwe beesiba terulisumulukuka, so n'olukoba lw'engatto zaabwe terulikutuka:
28 obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe biribalibwa ng'amayinja ag'embaalebaale, ne bannamuziga baabwe nga kibuyaga;
29 okulira kwabwe kuliba ng'empologoma, balirira ng'empologoma ento: weewaawo, balirira, balikwata omuyiggo gwabwe, ne bagitwalira ddala mirembe, so tewalibaawo aliwonya.
30 Era baliwuuma ku bo ku lunaku luli ng'ennyanja bw'ewuuma: era omuntu bw'atunuulira olukalu, laba ekizikiza n'ennaku, n'omusana guzikizibwa mu bire byalwo.