Chapter 29
1 Owange, Alyeri, Alyeri, ekibuga Dawudi kye yasiisirako mugatte omwaka ku mwaka; embaga zituukire mu ntuuko zaazo:
2 ne ndyoka nakuwaza Alyeri, era walibaawo okukaaba n'okuwuubaala: era aliba gye ndi nga Alyeri.
3 Era ndikusiisirako enjuyi zonna, era ndikuzingiza n'ekigo, era ndikuzimbako enkomera ez'okuzimbirira.
4 Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka, n'ebigambo byo biriba wansi nga biyima mu nfuufu; n'eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu, nga liyima mu ttaka, n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biyima mu nfuufu.
5 Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge, n'ekibiina eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufu efuumuuka: weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago.
6 Alijjirwa Mukama ow'eggye n'okubwatuka n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene, n'omuzimu ne kibuyaga n'olulimi olw'omuliro ogwokya.
7 N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri, gonna agalwama naye n'ekigo kye, n'abamuteganya kiriba ng'ekirooto, okwolesebwa okw'ekiro.
8 Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota, era, laba, ng'alya naye n'azuukuka, n'obulamu bwe nga tebukkuse: oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, era, laba, ng'anywa; naye n'azuukuka, era, laba, ng'azirika n'obulamu bwe nga bwoya: bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'amawanga gonna agalwana n'olusozi Sayuuni.
9 Mulindirire mwewuunye; mwesiimire ddala muzibe amaaso: batamidde, naye si na mwenge; batagatta, naye si na kitamiiza.
10 Kubanga Mukama afuse ku mmwe omwoyo ogw'otulo otungi, era azibye amaaso gammwe, bannabbi; n'emitwe gyammwe, abalaguzi, agibisseeko.
11 N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti Soma kino, nkwegayiridde: n’ayogera nti Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero:
12 ne bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti Soma kino, nkwegayiridde: n'ayogera nti Siyigirizibwanga.
13 Mukama n'ayogera nti Kubanga abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya mu kamwa kaabwe era kya ku mimwa gyabwe, naye omutima gwabwe baguntadde wala, n'okuntya kwame kiragiro kya bantu kye bayigirizibwa:
14 kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu ogw'ekitalo mu bantu bano, omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero: n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira, n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa.
15 Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kabwe, n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza, ne boogera nti Ani atulaba? era ani atumanyi?
16 Muvuunikira ddala ebintu. Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti Teyankola; oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti Talina magezi?
17 Tekyasigaddeyo kiseera kitono nnyo Lebanooni alifuusibwa ennimiro eŋŋimu, n'ennimiro eŋŋimu baligiyita kibira?
18 Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira ebigambo by'omu kitabo, n'amaaso g'omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza.
19 Era abawombeefu balyeyongera okusanyukira Mukama, b'abaavu mu bantu balisanyukira Omutukuvu owa Isiraeri.
20 Kubanga ow'entiisa bamudibizza, n'omunyoomi akoma, n'abo bonna abalabirira obutali butuukirivu bazikiridde:
21 abafuula omuntu omusobya mu musango, ne bamutegera omutego anenya mu mulyango, ne bakyamya omutuukirivu n'ekitaliimu.
22 Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera mu nnyumba ya Yakobo talikwatibwa nsonyi kaakano, so n’amaaso ge tegalikyuka bbala lyago.
23 Naye bw’aliraba abaana be, omulimu ogw’engalo zange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange; weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo, era balitekemukira Katonda wa Isiraeri.
24 Era n'abo abakyama mu mwoyo, balifuuka abategeevu, n'abo abeemulugunya baliyiga okuyigirizibwa.